OKULEMESA ENKULAAKULANA: Waliwo abatuuze abaloopye Omubaka Kanyike, ayanukudde
Abatuuze ku kyalo Nakiga mu district ye Masaka balumiriza Omubaka wa Bukoto East Ronald Evans Kanyike okuba nga yalemesezza aba kampuni ya Bidco okulima ebinazi mu kitundu kino. Bano bino babibuulidde minisita alondoola eby’enfuna by’eggwanga Beatrice Akello. Ono Olwaleero asiibye mu district ye Masaka.Omubaka Kanyike agamba ye kyeyetaaga bwenkanya eri abantu abalina okuva ku ttaka lino.