OKULAGAJJALIRWA ABASAWO: Odongo alumiriza eky’okumussa ku ddagala lya kkansa nga tamulina
Waliwo omusajja alumiriza ab'ebyobulamu okumulagajjalira nebamuteeka ku ddaagala lya kkansa ate nga tamulina .
Ono agamba nti bino byaliwo mu 2016 natandika eddagala okuli n'okulongoosebwa , kyoka oluvanyuma nasalawo okugenda mu malwaliro abili e Nairobi mu Kenya gyebaddamu okumwekebejera nebakizuula nti talina Kansa .
Abakulu mu ddwaliro e Mulago bawadde Andrew Odongo amagezi agende mu kakiiko akalondoola emirimu gy'abasawo ateekeyo okwemulugunya bwaba akakasa nti ddala yakolebwako obulagajjavu.