OKUGGULAWO EBIFO EBISANYUKIRWAMU: Ab’e bbaala bali mu keetalo
Abaddukanya ebbaala n'ebifo ebirala ebisanyukirwamu beesunga lwa Mmande lwe bagenda okuddamu okukola awatali kukubwa ku mukono. Olunaku balulinze nga lw’ameefuga kubanga babadde babuzaayo ennaku ntono okuyingira emyaka ebiri egy’ekutte egy’omuggalo.