OKUBBA EMMUNDU ZA POLIISI: Bbiri zibbiddwa e Mbale, OC akwatiddwa
Nga wakayita olunaku lumu lwokka ng’abantu abatanaba kutegeerekeka beegezezza mu Poliisi ye Nakulabye, ate waliwo emmundu bbiri ne Radio call ezibbiddwa okuva ku Poliisi Post ye Bungokho mu disitulikiti ne Mbale. Akulira Poliisi eno n’abaserikale abalala babiri bamaze okukwatibwa.