Obuwagizi eri Mukula: Aba NRM baagala baavuganya nabo bamulekere ekifo
Waliwo Banna NRM mu bitundu bye Teso abaagala wabeewo okukaanya , Calvin Echodu omu ku beegwanyiza ekifo ky’amyuka ssentebe wa NRM mu Buvanjuba alekere munne bwe bavuganya ku kifo kino Hon. Captain Mike Mukul.a Bano bagamba nti kino kyetaagisa olwokunyweza obumu bw’ekibiina mu kitundu kino.Bino babyogeredde ku lukungaana lwa NRM olwakubiddwa mu kibuga Soroti, Mukula kwe yasinzidde okusaba obuwagizi ku kifo ky’amyuka ssentebe wa NRM mu buvanjuba