MPIGI OKUKABASANYA ABAANA :Omusawo w’ekinnasi asindikiddwa ku alimandA
Omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti e mpigi Janefrancis Nanvuma asindise kwa alimanda omusamize Swaibu Mirundi nga ono avunaanibwa emisango munaana.
Kigambibwa nti ono yenyigira mu kukabasanya abaana beyezaalira nabawereba n'akawuka kamukenenya . Mirundi asimbidwa mu kkoti esokerwako e mpigi nasomerwa emisango gino nagyegaana . Ono yakwatibwa polisi y'e mpigi gyebuvuddeko oluvanyuma lw'abamu kubaana be okutoloka ewaka oluvanyuma nebamuwawabira okubatusako ogwobulisa manyi. Swaibu takkiriziddwa kubaako kyayogera kyonna kubanga kkooti eno terina buyinza kuwozesa misango gya naggomola nga gino. Ono asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 21 omwezi guno lwanakomezebwawo mu kkooti okwongera okusomerwa emisango gyegimu.