Minisita Kabanda agamba Museveni yayimirizzaamu enkola ya EFRIS
Minisita wa Kampala Minsa Kabanda ngali wamu n'ebibiina byabasuubuzi mu Kampala bategeezezza nga omukulembeze w'eggwanga bweyayimirizza mu nkola ya EFRIS ssaako n'ebibonerezo eri abo abatagiriiko okutuuka nga musanvu omwezi ogujja lwagenda okulangirira ekinaddako. Bano babadde boogera ku byavudde mu nsisinkano gye baabaddemu n'omukulembeze w'eggwanga akawungeezi k'eggulo. Kitegeerekese ng'omukulembeze w'eggwanga bwe yasuubizza okusooka okusisinkana abakugu mu by'enfuna n'emisolo ku nsonga eno alyoke asalewo ekyenkomeredde.