Makerere yakutongoze enkola y’okunoonyeza ebiwandiiko by’obuyigirize ku yintaneeti
Ssettendekero wa Makerere ataddewo omukutu gwa Yintaneti abagaba emirimu kwebanaayitanga okwekenneennya empapula z’obuyigirize ez'abakozi be beetaaga. Avunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu ssettendekero wa Makerere Prof. Buyinza Mukadasi atubuulidde nti omukutu guno gugenda kutongozebwa nga omu kukaweefube w’okulwanyisa omuze ogw'okujingirira empapula z'obuyigirize.