Kyagulanyi asambazze bye bamusibako ebya ‘PLAN B’
Robert Kyagulanyi Sentamu ku lw’ekibiina ki National Unity Platform agamba nti ebyogerwa nti balina enteekateeka okuvuunika gavumenti oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kulonda bulimba bwennyini obuliko abamuseesaamu. Waliwo enjogera eya Plan B eyacaaka n’etuusa n’ab’ebyokwerinda okwebuuza ekigirimu abamu kwe baava okugamba nti kyandiba nga Plan eyo yeerimu olukwe lw’okusuula gav’t ya kuno.
Olwaleero Kyagulanyi abadde mu nsinsikano ne ba kkansala abalonde ab’omu Kampala