ENKUNGAANA Z’EBYOBUFUZI: Poliisi eyogedde lwaki ekkiriza eza Gen Muhoozi
Poliisi etegezezza akakiiko k’eddembe ly’obuntu nti Gen Muhoozi Kainerugaba amala kutegeeza ku poliisi buli lwaba agenda okukuba enkungaanaze. Bano babadde basisinkanye ssentebe w'a kakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya okubabuuza akana nakataano lwaki poliisi ekugira bannabyabufuzi abamu okukuba enkungana saako okubatulugunya ate abalala nebasigala nga balya butaala.