Empiso eziyiza okusiigibwa siriimu: Bannayuganda bawonye okugigula obukadde 100
Tukitegedde nti abantu 17,000 okuva mu bitundu by’eggwanga ebirondobemu beebagenda okusooka okuganjulwa mu ddagala erigema akawuka ka mukenenya ery’ekika ki lenacapavir eryakazuulwa ku bwereere. Kino kiddiridde gavumenti yaakuno okutuuka ku nzikiriziganya n’ekitongole ekivujjirizi ki Global Fund, ne bakkaanya wabeerewo abantu abagemwa ku bwereere, kyokka nga gavumenti ya uganda yakubaako ensimbi zeegattako. Mu nteekateeka eno, gavumenti ya Uganda yaakusooka kweyambisa akakadde ka dolla kamu mu emitwalo kkumi neena kwezo zeyeewola okuva mu Global Fund - kyokka nga kisuubirwa nti n’abantu abalala baakugemwa singa obuvujjirizi obulala bulabika.