Emboozi ku bawala abali ku byeyo
Banna Uganda baangi bayayaana okugenda emitala wamayanja okukola basobola okwenogera ku nnusu naye bwebatuuka eyo naddala mu mawanga g’abawalabu baangi bayisibwa ng’ekyokuttale ekiviridde bangi okulowooza nti batundibwayo nga baddu. Mu kitundu eky’okubiri eky’emboozi y’abawala abakomyewo kuno okuva mu ggwanga lya Saudi Arabia Herbert Kamoga agenda kukubuulira ensonga lwaki abamu balowooza nti bano batwalibwa mu buddu.