EKIRWADDE EKITATEGEEREKEKA: Abatuuze be Kyotera basattira, 9 bafudde mu myezi esatu
Wabaluseewo obweraliikirivu mu batuuze be ggombolola ye Kasasa mu disitulikiti y’e Kyotera olw’ekirwadde ekitategeerekeka ekitandise okutta abantu mu kitundu Abatuuze bagamba nti ekirwadde kino kitandika nga katulututtu nga bwekaabika n’ekiryoka kisaasaanira ebitundu by’omubiri ebyawaggulu era bwewayita ennaku ntono omuntu n’afa Okusinziira ku batuuze abantu mwenda be bafudde ekirwadde kino mu myezi esatu egiyise.