EBIKUJJUKO BY’ABAJJULIZI MU BAKRISITAAYO: Teri kusena mazzi g’amukisa ku luno
Kitegerekese nga abakrisitaayo abanalamaga olw'e Namugongo ku kiggwa ky'abajulizi abakulisitaayo bwebatagenda kusena mazzi ga mukisa . Abateesiteesi ku ludda lw'abakrisitaayo bategeezeza nga ekifo awali omuddumu gw'amazzi gano bwewali mu kudaabirizibwa mu kaweefube w'okutereeza ekifo kino . Emikolo ku ludda lw'abakrisitaayo gyitegekedddwa obulabirizi bwa Greater Ankole era leero balambudde ekifo kino , saako nokutegeza nga entekateeka bwegenda obulungi.