EBIDDUKA BY’AMASANNYALAZE: Waliwo abatandise okukyuusa pikipiki z’amafuta
Pulezidenti Yoweri Museveni yeeyamye nga gavumenti ye bwejja okuwagira enteekateeka z'okulaba nga bannayuganda beeyongera okwettanira ebidduka ebikozesa amasannyalaze okusobola okunogera eddagala ekizibu ky'ebbeeyi y'amafuta eyeekanamye. Weyayogeredde bino nga waliwo abantu abatandise okukyusa pikipiki ezikozesa amafuta okuziifuula eza masannyalaze.