COVID E IGANGA: Abaayo bali ku bunkenke, 50 be bakwatiddwa mu wiiki
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Iganga batuula bufoofofo olwa nnamba yabalwadde ba covid-19 eyeyongera buli lukya. Bano bali mukutakula mitwe olwabalwadde abali eyo mu ataano abakwatiddwa ssenyiga omukambwe mu banga lya wiiki emu yokka nga bano ku bbo baafudde. Abebyobulamu erudda eno bategezezza nti neddagala erigema coovid-19 eryabaweebwa lyagwaawo nga kati baagala gavumenti ebasalire ng'ekizimba tekinasamba ddagala.