Besigye akyakuumirwa waka, bannamateeka be bagenda mu kkooti
Bannamateeka ba Besigye bategeezezza nga bwe bagenda okuddamu okuwa poliisi ebiragiro bya kkooti ebyayisibwa emabegako nga bikugira poliisi obutaddamu kufuula makaage kkomera wamu n’okukuba Ssaabawolereza wa gavumenti mu mbuga z’amateeka olwa poliisi okutyoboola ebiragiro bya kkooti. Bannamateeka abakulembeddwamu Erias Lukwako bategeezezza nti tali mu mbeera mbi naye eddembe lye ery’okwetaaya lityoboddwa. Bano baasoose kugaanibwa okutuuka mu maka ga Besigye. Besigye kati agenda kuweza kumpi wiiki emu nga takkirizibwa kuva mu makaage.