Bannamateeka baagala etteeka ku nkungaana liwerebwe
Abalwanirira eddembe ly’obuntu tebannasa mukono ku tteeka erirungamya enkungaana li Public Order Management Act erya 2013. N’olwaleero basiibye mu kkooti etaputa ssemateeka nga bagyegayirira etteeka lino erisuule mu kasero liggyibwe ne mu biwandiiko bya Uganda kubanga lirinyirira eddembe ly’obuntu. Okusaba kuno bano bakuyisizza mu bannamateeka ba Kiiza and Mugisha Company Advocates era nga abakulembeddemu okusaba kuno bannamateeka okuli Grace Mark Tusuubira ne Cissy Nabatanzi.