Babiri bagyiridde mu muliro ogukutte obuyumba mu Ndeeba
Poliisi ekakasizza nti abantu babiri bafiiridde mu muliro ogukutte obuyumba omubadde amabaala n'e loogi mu kitundu ekiyitibwa Betania Mu ndeeba. Okusinziira ku mwogezi wa polisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, okunoonyereza ku kyavuddeko omuliro guno kugenda mu maaso yadde ng'abatuuze baloowooza nti gwabadde mugenderere. Guno gwatandise ku ssaawa kkumi ez'ekiro ekikeesezza leero.