Alangibwa okubba ente bamukwatidde Luweero, abadde yeewandiisa mu magye
Waliwo omuvubuka akwatiddwa mu district y’e Luwero egye lya UPDF bwelibadde lisinsula abagenda okuyingira amagye. Omukwate ye Godfrey Muwanguzi omutuuze w’e Kaweweta mu district ye Nakaseke nga ono kigambibwa nti mubbi wante abadde awenjezebwa okumala ekiseera. Abavubuka abakunukirizza mu nkumi bbiri b’ebazze ngabagala okuyingira amagye kyoka babadde betaagako 200 bokka.