AKABENJE KA MMOTOKA YA PULEZIDENTI: Waliwo basatu abalumiziddwa, baddusiddwa mu malwaliro
Waliwo abantu basatu abasimattuse n'ebisago oluvannyuma lw'omuvuzi wa boda boda ebadde yeetisse abantu babiri okuyingirira Convoy y'omukulembeze w'egganga. Akabaneje kano kakasiddwa Omwogezi w'amagye agakuuma president aga SFC Jimmy Omara era nga kabaddewo ku ssaawa ttaano ez'okumakya g'olwaleero ku luguudo lwa Northern Bypass okumpi n'enkulungo y'e ssentema.
Omara agamba nti abafunye ebisago Baddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago n'e Mengo okufuna obujjanjabi.