Abawagizi ba Ssebamala bateekateeka kuddukira mu kakiiko kebyokulonda
Ekiwayi kyabanna DP ekiwaira Omubaka Richard Ssebamala kiteekateeka kuddukira mu kakiiko k'ebyokulonda okutwalayo okwemulugunya ku byaliwo mu kulonda obukulembeze bwekibiina. Olwaleero bano babadde n'ensisinkano eyetabiddwako abakulembeze bekibiina mu disitulikiti za Buganda okulaba eneri gye bayinza okukolera awamu mu kulwanyisa obwannakyemaira mu kibiina kyabwe.