Abakugu bawadde amagezi kukulwanyisa amataba e Mbale
Abamu ku banasayansi bawwadde gavumenti amagezi okuddamu okukuba pulaani y’ekibuga ky’e Mbale enaasobola okukitangira amataba agasusse mu kitundu buli nkuba lwetonnya. Minisita we Karamoja Mary Goretti Kitutu era nga mukugu mu by'obutonde agamba ab’ebitongole okuli eky’ebyenguudo ne minisitule y’ebyamazzi balina okukolera awamu okuzimba entindo ezifulumya amazzi okutangira amazzi okwanjaala ekibuga buli buli nkuba lwetonya.