AB’EGGWANGA LYA POKOT: Tukubye ttooki mu mbeera y’obulamu bwabwe
Ekitundu kya Karamoja kimanyiddwa nnyo olw’abantu abayitibwa aba Karimojong abasangibwayo, era bano basinga kumanyibwa olw’okuba n’emmundu zebakozesa okunyaga ente n’ewankubadde gavumenti erwanye era ezisiinga ezibajjeeko. Kyokka mu kitundu kye kimu mulimu amawanga amalala agatamanyiddwa nnyo olw’omuwendo gw’abwe okuba omutono. Olwaleero katukubuulire ebitonotono ebikwata ku bantu abayitibwa aba Pokot.