Pulezidenti Museveni agamba etteeka ku bawozi b’ensimbi lijja
Waliwo etteeka ekkambwe olukiiko lwa ba minisita lwe luli mu kutekaateka okusobola okutaasa bannayuganda ababbibwa abawozi b'ensimbi bayite ba Money Lender mu ngeri etaliimu bwenkanya.Bino birangiriddwa omukulembeze w'eggwanga yennyini nga agamba nti bano ye yabakoowa okukozesa abantu endagaano ezitunda ebyo bye baba babasingidde ate ng'ekituufu kuba kuwola so si kutunda.