“OGOBA OTYA IMAM?”: Abasiraamu e Masaka balumbye Kadhi
Poliisi ekkakkanya obujagalalo eyiiriddwa ku muzikiti omukulu e Masaka oluvannyuma lw’ekiwayi ky’abasiraamu ekimu okulumba woofiisi ya district Kadhi wa Masaka Sheikh Sulait Ssentongo. Ono bamuvunaana kuyimiriza Imam w’omuzikiti guno Sheikh Abaasi Nseera n’omuwandiisi we Hajji Bruhane Lugemwa basobole okunoonyerezebwako ku nsonga ezeekuusa ku by’ensimbi n’okuddukanya emirimu gy’omuzikiti guno.