“MWEBALE OBUWEEREZA" Ssaabapoliisi asiibudde abasirikale abaawummuzibwa
Abaserikale ba Poliisi abawumuziddwa basabye Gavumenti eyongeze ku nsimbi z'ewa ekitongole kyaPoliisi, okuzimbira abaserikale abali kumadaala agawaansi enyumba ez'omulembe n'ebirala, kisobozese abaserikale okutukiriza obuvunanyizibwa bawe obulungi . Bano era bakukuluma nti oluwumula olwo nga beerabirwa ekintu kyebagamba nti sikulungi. Enkya ya leero ssaabadumizi wa Poliisi akedde kusibula abaserikale 38 okubadde n'abaliko abamyuka be okuli Asan Kasingye, Edward Ochom ne Andrew Sorowen. Bibade ku kitebe kya Poliisi e Nagulu.