Okusunda amasannyalaze: Kampuni ezigulimu zaakukolera ku kkatala
Ekitongoole ekivunaanyizibwa ku kusunda amasannyalaze ki Uganda Electricity Generation Company Limited kisabye Minisitule y'ebyobugagga obw'ensibo okugiyamba esobole okusasulwa obuwumbi obusukka 12 bwebabanja ekitongole ekitambuza amasanyalaze ki Uganda Electricity Transmission Company Limited .Kino kizeewo oluvanyuma lwa UEGCL okuwa aba Namanve Thermal Power Plant abakola amasanyalaze byebalina okutuukiriza ku nsonga y’okubunyisa amasannyalaze.Essundiro lino ery'amasanyalaze aga Thermal lyatwalibwa ab'ekitongole kya UEGCL okuva ku ba Kampuni ya Jacobsen eyali eriddukanya mu 2022.