NATTI EZASSIDDWA KU SIPIIKA :Bobi wine azisanyukidde , ayagala zissibwe ne kubalala
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, asanyukidde ekikolwa kya Bungereza okuteeka natti ku bakungu ba gavumenti okuli Sipiika wa palamenti, Anita Among n'abaaliko ba minisita be Karamoja okuli Mary Gorret Kitutu ne Agnes Nandutu olwokwenyigira mu bulyaake kubigabibwa nti baabulankanya amabaati g'e Karamoja.Wabula Kyagulanyi asambaze eby’etteeka ku bisiyaga okubeera kanaluzaala wa nnati zino nga agamba nti enkiiko ez'enjawulo zebazze batuulamu n’amawanga g’ebweru nga kwotadde n’omulanga gwabwe ku kukomya ebikolwa by’okulinyriria eddembe ly’obuntu yekanaluzaala.Baker Ssenyonya Mulinde katuwe ebisingawo .