OKUKEEZA ABAANA KU MASOMERO :Tukuleetedde okusomoozebwa okulimu
Nkakasa nga abatera okukeera mulaba abaana abato nga bali mu kkubo baagenda ku ssomero! Newankubadde ekitongole ky’ebyenjigiriza kizze kikubiriza abasomesa n’abazadde okukomya omuze guno, abaana bakyasindikibwa ku masomero ne ku ssaawa e kkumi n’emu n’ekitundu.Olwaleero twagala okwongera okutunuulira ensonga eno n’okutegeera lwaki kino kigenda mu maaso.