ANDERSON BURORA :Ye n’abalala batandiseewo akakundi akalwanyisa enguzi
Eyali Omumyuka wa RCC w'e Rubaga Anderson Burora n’awummuzibwa gye buvuddeko, agamba nti atandiseewo akakundi mu NRM katuumye NRM in Resistance. Kano agamba, kalimu aba NRM abatakkiriziganya na bulyake, enguzi n’okutulugunya abantu.Agamba bagenda kutandika okweyambisa amakubo ag’enjawulo okulwanyisa obuli bw’enguzi n’obulyake mu ggwanga naye mu makubo ago temuli bya kwekalakaasiza ku nguudo.