EMISINDE GY’AMAZAALIBWA GA KABAKA: Ekitebe kya NMG kitongozeddwa ng’ekifo awatundira emijoozi
Ekitebe ky'a Nation Media Group ekiri ku Kizimbe kya Airtel House kitongozedwa leero nga ekimu ku bifo awatundirwa ebyambalo by’abaddusi abagenda okwetaba mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka. Emisinde gino gyakubaawo nga musanvu omwezi ogujja era nga gisuubirwa okwetabwako nnamungi w'omuntu. Amyuka Katikkiro wa Buganda ow'okubiri Robert Waggwa Nsibirwa yatongozza ekifo kino ngali wamu n’akulira Nationa Media Group,Susan Nsibirwa.