Ssabalabirizi, Kazimba Mugalu asiimye aba Crown Beverages olw'okuwa bannayuganda emirimu
Abakulira kampuni ya Crown beverages ekola Soda wa Peps n’ebirara etubuulidde ng’akatale ka uganda bwekagigezzeeko nga kakano byekola tebisobola kumatiza bwetaavu bwa bantu.
Omu ku bakulira kampuni eno Prof. Maggie Kigozi agambye nti abantu bajjumbidde okugula bye bakola nga kaakano baaguze ne kampuni ya Peps e kenya.
Okwogera bino babade bakyaziza abalabirizi okuva mu kanisa ya uganda ne bakyala baabwe ku kkolero lyabwe ely’e Kakungulu- Sisa nga bakulembedwamu ssabalabirizi Dr Samuel stephen Kazimba Mugalu.