Abaliko obulemu bagamba, banadiini tebabafuddeeko
Abantu abaliko obulemu obw’enjawulo basabye bannadiini okukyusa mu kola yabwe gyebagaba nti ebaleka mabega newankubadde nga nabo balina eddembe lyabwe ery’okusinza.
Bano bagamba nti amasinzizo mangi tegalina bavvuunuzi sso ng’ate amalala gaazimbibwa mu ngeri ezizibuwaza abalala okwenyigira mu kusinza.
Ekibiina ekitaba enzikiriza ki Inter Religious Council of Uganda kigamba kyakufuba okulaba nga kiteeka eby’ogeddwako mu nkola.