FFE TUMULINA : UPDF ekakaasizza okukwatibwa kwa Ssewanyana e Kigo
UPDF gakakasiza nga bwelina omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana, ayakwatiddwa olunaku lw’eggulo amangu ddala nga yakayimbulwa okuva mu kkomera e Kigo ku misango egyekuusa ku ttemu ly’e Masaka n’egy’obutujju.
Ayogerera egye ly’eggwanga Brig. Flavia Byekwaso newankubadde tebanyonyodde misango gyimuvunaanwa, naye bagamba tegyekusa ku byali e Masaka.