Nakibuuka aziikiddwa, eklezia yekulembedde missa emusiibula
Oluvannyuma lw’ennaku ezisukka mu kkumi ngafudde, namukadde Mari Tereza Nakibuuka omutuuze w’e Nakuwadde Bbira mu disitulikiti ye Wakiso amaze n’aziikibwa. Nakibuuka ono okutuuka okumala ennaku zino zonna nga tannaziikibwa kyava ku kirambo kye kye yaleka ngakalaatidde abenganda ze obutamuziika okutuusa nga. Eklezia ekomezzaawo ekyapa kyettaka kye yali yagiteresa Eklezia yeekulembedde missa y’okuziika Nakibuuka era ng’emutenderezze olw’obuweereza bwe.