Wuuno awangadde n'ensigo endala emyaka 10 | OBULAMU TTOOKE
Uganda erimu abantu omutwalo gumu mu kasanvu abatawaanyizibwa obulwadde bw'ensiga okusinziira ku bibalo wabula ng'emu ku nzijanjaba y'obulwadde buno kwekusimbuliza oba okukyusa ensigo eba eriko ekizibu olwo nebateekamu ennamu. Okusinziira ku bakugu agaba ne gwe bawa ensigo balina bye balina okubeera abegendereza ennyo mu neeyisa yaabwe kko n'endya okusobola okukuuma omubiri nga mulamu. Mu bulamu ttooke leero tukuleetedde emboozi ya Caroline Atim amaze emyaka kkumi ngalongooseddwa nassibwamu ensigo endala oluvannyuma lw'okufuna obulwadde bw'ensigo.