Abakulembera obutale bagala KCCA ebeeko byeba ebakolera nga tenabweddiza
Ekibiina ekitwala obutale bwonna mu Kampala ki Uganda Markets Union kigamba nti KCCA nga tennaba kussa mu Nkola kiragiro kya mukulembeze wa ggwanga ekyokukyusa obukulembeze bw’obutale, yandisoose kuyisa tteeka lirungamya nzirukanya yaabwo. Bagamba nti singa enkyukakyuka mu butale ezijja tezikolebwa mu tteeka kiyinza okutaataaganya entambuza y’emirimu.