Abadde aboonyabonya abaana ba mujjawe e Nabweru akwatiddwa
Abatuuze kko n’ab’obuyinza e kazo Angola mu gombolola ye Nabweru baliko omukyala gwebakutte nga bamulanga kutulugunya baana ba mujjawe. Akwatiddwa ye Juliet Akolu,nga ono kigambibwa nti abaana bano ababiri abadde abasiibya ku miggo kko nokubasiba e miguwa n’abawalulira ku ttaka.