OKWAGAZISA ABANTU OKULIMA N'OKULUNDA : Pulezidenti alambudde ab'e Gomba ne Ssembabule
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayagala abalimi bave mu kwekuumira ku kulima n'okulunda eby'okulya mu maka gaabwe kyokka wabula bafeeyo okulima n’eby'okutunda. Okwogera bino pulezidenti abadde akyazizza baminisita bonna, sipiika wa palamenti, amyuka Ssaabalamuzi kko n'abakungu abalala mu gavumenti okubalaga abalimi n'abalunzi okuva e Gomba ne Ssembabule abafunye mu kulima n'okulunda.