Omudingiya akubirizza abantu be okukuuma obutonde bw’ensi
Omudingiya Wa Bwamba Lt. Martin Oyongi Kamya akubirizza abantu be okukuuma obutonde okusobola okwewala ebibamba ebiva ku nkyukakyuka y’obudde gamba ng’okuyigulukuka kw’ettaka. Omudingiya yasinzidde ku mukolo gw’okukuza amatikkira ge ag’omulundi gwe kkumi n’ogumu ogwayindidde ku kisaawe kya Boma mu tawuni ye Bundibugyo.