Okwetegekera 2026, NRM ekyasunsula abanaagikwatira bendera
Bannakibiina ki NRM abeegwanyiza okwesimba ku kaadi y'ekibiina basabye akakiiko k’ebyokulonda okubeera akeerefu mu kamyufu ka NRM ak'okubeerawo omwezi ogujja. Kino kigenze okujja nga ekibiina mu kadde kano kiri mu kusunsula abeegwanyiza okwesimba ku kaadi y'akyo ku kitebe ky'akakiiko k’ebyokulonda e Kyadondo.