Okulonda kwa 2026, aba NUP bakyazzaayo mpapula za kwegwanyiza
Banna NUP ab'enjawulo basuubiza nga bwegenda okwongera mu buweereza bwaabwe eri bebakiikirira ku bifo eby'enjawulo ssinga baddamu okulondebwa mu bifo byebabaddemu.Ku bano kubaddeko akulira oludda oluvuganya mu palamenti era omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, Joyce Baagala omubaka Omukyala owa Mityana, Teddy Nambooze omubaka Omukyala ow’e Mpigi, saako n'abalala.