OKWEKALAKAASA OLW’AMABAATI :Munaana basindikiddwa e Luzira
Abantu munaana abaakwatibwa ku lw’okubiri lwa ssabiiti eno nga bekalakaasa olw’abaabulankanya amabaati g'e Karamoja basindikiddwa mu kkomera e Luzira . Bano okukwatibwa bali bawakanya ekyokukwata akasoobo ensonga z'amabaati ge Karamoja ba Miniista abawera mwebalumizibwa okuba nga benyigira mu munyago. Bwebalabiseeko mu maaso g'omualmuzi Asuman Muhumuza ow’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda roda , basomeddwa musango gwa kulumya muserikale wa Poliisi Asp Flavia Musimenta akulira Poliisi Post ya Mini Price. Bano emisango gino bagyegaanyi.
Abasindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 12 Omwezi ogujja kuliko Bukenya Moses , Ndyasiima Nelson, Najjuma Sanyu , Kawooya Sharif,Nayesire Gilbert , Batanda Augustine , Ssegawa Shafia ne Ssemakula Teddy . Omulamuzi wabula tabakkiriza kusaba kweyimirirwa nga agamba nti kino bakukikola nga 12 omwezi ogujja nga bakomyewo mu kkooti.