Poliisi esabye ab'enganda z'abantu abaali mu baasi ya kampuni ya YY okuba abagumiikiriza
Poliisi esabye ab'enganda z'abantu abaali mu baasi ya kampuni ya YY eyafuna akabenje week ewedde okuba abagumiikiriza nga nabo bwe bakola okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyaviirako akabenje kano.
Wiiki ewedde, twakulaga amawulire nga ab'enganda z'abantu bano babanja amayitire g'abantu baabwebe balumiriza nti baali mu bbaasi eno wabula emirambo tebaagirabako.
Poliisi etubuulidde nti emirambo egimu gy'ajja kumpi kutuuka kufuuka biririiza era nga bakyagezaako kukola ndagabutonde okumanya bannyinigyo abatuufu.