Olunaku lwa ba ’nnansi’ mu nsi yonna: Basabye gavumenti ewandiise bannaabwe abalala
Kitegeerekese ng'omuwendo gw'abajjanjabi N'abazaalisa bwegweyongera okukendeera bwogerageranya n'abalwadde be bajjanjaba ekireseewo obweraliikirivu ku mutindo gw'obuweereza bwabwe
Kyokka ekyewuunyisa nti ate n'omuwendo gw'abajjanjabi n'abazaalisa abatalina mirimu nagwo guli waggulu.
Kati olwaleero nga Uganda yeegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw'abajjanjabi, waliwo abasabye gavumenti eyongere okuwandiisa abajjanjabi n'abazaalisa okusobola okutaasa embeera wabula ng'era baagala erongoose embeera mwe bakolera .