OKUTUUSA OBUWEEREZA KU BANNANSI :Mao agamba waliwo ba mafiya ababuzaabuza pulezidenti
Minisita w’ebyamateeka Norbert Mao ategeezezza nga bwewaliwo bannakigwanyizi mu gavumenti mwaweereza ababuzaabuza pulezidenti Museveni nga baagala okumutomeza baguze gavumenti ettaka eritasaanidde. Mao agamba nemukusengula akakiiko k’ebyokulonda waliwo abantu mu gavumenti baayise abafere ababadde baagala okusiba pulezidenti ettaka ly’olutobazi bazimbeko ekitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda. Mao okwogera bino abadde aggulawo wofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda empya oluvanyuma lw’okuzisengula kisobozese ekitongole ekikola enguudo okutandika okuzimba oluguudo mwasa njala olwa Jinja Express way.