OKUTUNDA AMALIBA EBWERU WA EAST AFRICA: Ababaka ba EALA bakubaganye empawa
Ababaka b’omukago gwa palamenti ya East Africa bakubaganye empawa ku ky’okuwera okutunda amaliba agatalongooseddwa wabweru wa East Africa n’okugula ebiva mu maliba agalongoseddwa okuva mu mawanga amalala.Kino kiddiridde ekiteeso ekireeteddwa omubaka wa Kenya David Sankok wabula abamu ku babaka banne nebamujjukiza nti East Africa tebannafuna busobozi kwetengerera ku kyakukola bintu by’amutindo gw’awaggulu ebiva mu maliba nga engatto n’ebirala .