Okusasula abakozi abaafa, aba minisitule y’abakozi bakunyiziddwa
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola esasaanya ya ssente z’omuwi w’omusolo batadde abakulu abaddukanya minisitule y’abakozi ku nninga okunnyonnyola butya abakozi 7,341 bwe batuuka okuwebwa emirimu mu bitongole bya gavumenti ebye'njawulo nga tewali abawadde lukussa ekintu ekyafiiriza gavumenti ensimbi ennyingi mu kubasasula emisaala.Okusinziira ku alipoota ya ssaababalirizi w'ebitabo bya gavumenti, waliwo n'abakozi abasoba mu lukumi abaasigala nga bafuna omusaala kyokka nga baafa n'abalala nga beebulankanya ku mirimu.Bino bibadde mu kakiiko ka palamenti.