Okusaba e Namugongo, mu bakatuliki ekiggwa kiwuumye
Olunaku lw'okujjukira abajulizi ba Uganda lusombodde ebikumi n'ebikumi by'abantu ku biggwa by’ombi era okusinza n'okutendereza omukama byefuze olunaku.Okubuulira kwesigamiziddwa nnyo ku ky'abantu okwongera okukola ebinnyikiza okukkiriza kwabwe kwenkanenkene n'okw'abajulizi ba Uganda.Ebikujjuko by'omulundi guno, katubitandikire ki kiggwa ky'abakatuliki.